Abalumba e Kasese tubategedde - Gen. Kayihura

By Ali Wasswa

Ku Lwomukaaga, ennyumba ezisoba mu 10 e Kasenyi mu ggombolola y’e Buhirira - Busongora, Kasese okuli n’eya GISO, zaakumiddwaako omuliro mu bulumbaganyi obwalese ng’abavubuka 4 battiddwa n’abapoliisi 3 baakubiddwa bubi.

Save1 350x210


OMUDUUMIZI wa poliisi, Gen. Kale Kayihura, agambye nti, abaalumba poliisi n’okwokya ennyumba e Kasese bali mu bubinja bw’abalwanyi (mirisiya) nga balina emitima emigumu n’akakwate n’abakungu b’Obusinga bwa Rwenzururu.

Ku Lwomukaaga, ennyumba ezisoba mu 10 e Kasenyi mu ggombolola y’e Buhirira - Busongora, Kasese okuli n’eya GISO, zaakumiddwaako omuliro mu bulumbaganyi obwalese ng’abavubuka 4 battiddwa n’abapoliisi 3 baakubiddwa bubi.

Kati abantu baweze 6 abaakaafi ira mu bikolwa eby’obulumbaganyi. Kino kyaddiridde abavubuka abakambwe okulumba abaserikale ba poliisi abaabadde ku kabangali.

Ekyaddiridde poliisi kwe kuttako bana. Bo abapoliisi 3 be baalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago.

Abattiddwa ye; Nasoni Sagi, Kaki Saleri, James Wayekwa ne Jokas Kirembera ate omulala, Gideon Bwambale yalumiziddwa era Kayihura yagambye nti bagenda kumujjanjaba n’oluvannyuma bamukunye.

Kayihura, eyagenze e Kasese eggulo, yategeezezza abaamawulire eggulo nti, “Tuzudde ng’obubinja bwa bamirisiya bwe buli emabega w’abalumbaganyi bano.

Yagasseeko nti, waliwo n’obukakafu obulala nti abavubuka bano balina akakwate ku bantu abamu mu Businga. Yavumiridde ababaka ba Palamenti, Winnie Kiiza (Mukazi Kasese) ne William Nzou (Busongora North) okunenya poliisi okutta abalumbaganyi.