Omujaasi eyatta abantu 8 asibiddwa emyaka 90

By Ali Wasswa

ABANTU basanyukidde ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 90 ekyaweereddwa omujaasi L/Cpl Moses Katwesigye eyakuba abantu 8 amasasi n’abatta.

Saba 350x210

ABANTU basanyukidde ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 90 ekyaweereddwa omujaasi L/Cpl Moses Katwesigye eyakuba abantu 8 amasasi n’abatta.

Katwesigye yali akolera mu nkambi y’amagye eya Mburamizi mu Kanungu era mu be yatta mwalimu muganzi we Sarah Auma ne mujaasi munne L/Cpl Serestino Byansi kw’ossa abantu baabulijjo abalala 6 n’alumya n’abantu basatu.

 mujaasi atwesigye Omujaasi Katwesigye

 

Abattibwa abalala kuliko Olivia Tugumisirize, Maria Musimenta, Shafik Turyakira, Apofia Kyosimire ne Medadi Byamukama ate be yalumya kuliko; Emmanuel Barekye, Frank Twongirwe ne Dickson Tumuhirwe.

Kkooti ng’ekulirwa Col. Geoffrey Mujuni yatudde mu kisaawe ky’e Kihihi mu kitundu awaali ettemu n’amusomera ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 90 era abantu ne bagikubira emizira.

 ol eoffrey ujuni eyakulidde yamaguye eyakalize mujaasi atwesigye emyaka 90 Col. Geoffrey Mujuni eyakulidde y'amaguye eyakalize Omujaasi Katwesigye emyaka 90

 

Kyokka waliwo abatonotono abaabadde baagala omujaasi ono asalirwe kibonerezo kya kuttibwa era akubibwe amasasi mu lujjudde kiwe essomo abajaasi bonna abakozesa obubi emmundu ne batta abantu.

Baagambye nti okumusiba emyaka 90 kyandibadde kirungi, naye ate agenda kuba alya mmere ya Gavumenti ne basaba atwalibwe mu kkomera eririmu embeera enkakali abonerere.