Poliisi etaasizza Omugabe ku mulumbaganyi

By Musasi wa Bukedde

POLIISI yalwanaganye n’omusajja e Mbarara bwe yalumbye Omugabe wa Ankole amukube ng’amugobye mu lukiiko.

Save1 350x210

POLIISI yalwanaganye n’omusajja e Mbarara bwe yalumbye Omugabe wa Ankole amukube ng’amugobye mu lukiiko.

Ensiitaano yabadde ku Dinners Guest House Mbarara nga William Katatumba awakanya eby’okuzzaawo Obugabe so ng’Omulangira Asiimwe Ntare eyayise olukiiko yabadde ayagala lutuule.

Omulangira Ntare bwe yalabye nga Katatumba awakanya enteekateeka z’olukiiko kwe kumugobamu naye n’asalawo okukola olutalo.

Jafari Magezi akulira poliisi y’e Mbarara, yagambye nti okutabuka kw’olukiiko luno kyavudde ku kubeera nti waliwo abawakanya okuzzaawo Obugabe kubanga ebifo ebimu mwe balina ettaka kati by’ebyo Omugabe we yatuuzanga enkiiko mu biseera ebyayita.

Ntare y’ani?

  • Ntare ye Mulangira Owoomukaaga ali mu nteekateeka z’okuzzaawo Obugabe bwa Ankole. Singa obugabe buddawo abamuwakanya basobola okufiirwa erimu ku ttaka lye balina kubanga abakulira olulyo Olulangira bagamba nti ebimu byali bifo bya nnono mu Bugabe.
  • Ntare yagambye nti okuzzaawo ebya Ankole tebalina kwebuuza ku Katatumba, kabeere ng’akkirizza oba agaanye bo baakugenda mu maaso n’enteeketeeka.