Abatooro basabye Gavumenti ‘Ebyaffe’

By Musasi wa Bukedde

OMUKAMA wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV asinzidde ku mikolo gy’okukuza amatikkira g’Empango n’asaba Gavumenti okuddiza Obukama ebintu byayo ebikyasigalidde.

Mabonga 350x210

OMUKAMA wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV asinzidde ku mikolo gy’okukuza amatikkira g’Empango n’asaba Gavumenti okuddiza Obukama ebintu byayo ebikyasigalidde.

Yagambye nti ayagala n’ennimi ennansi zongere okusomesebwa mu masomero.

Yakubirizza n’abakungu mu Gavumenti n’abantu ssekinnoomu okwongera amaanyi mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu n’agamba nti mu myaka gino tewali mwana yandibadde akwatibwa kawuka ka siriimu ng’akaggya ku nnyina olwa tekinologiya n’eddagala eririwo.

Emikolo gy’Empango egy’emyaka 21 gyakuziddwa ku Lwamukaaga e Karuziika – Fort Portal mu Lubiri lw’Omukama wa Toro.

Gavumenti yakiikiriddwa omumyuwa nnamba ssatu owa Katikkiro wa Uganda, Haji Kirunda Kivejinja era ne Loodi Meey