Omutembeeyi amezze abagagga b’omu Kikuubo

By Musasi wa Bukedde

OMUTEMBEEYI Bashir Muwonge akaabizza abagagga b’omu Kikuubo amaziga. Azzeemu okubawangula n’enkoona n’enywa ekibanyiizizza nga beewuunya omuntu atalina waakolera okubakulembera.

Malawo 350x210

Omanyi abagagga bano baali baawawaabira Muwonge nga bagamba nti mumenyi w’amateeka tasobola kubakulembera era okuwangula akalulu yeekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda ne bababba obululu.

Omulamuzi Patience Tukundane owa Mwanga II ye yagobye omusango guno kyokka abagagga ne bata akaka nga bagamba tebajja kuweera okutuusa nga bafunye obwenkanya.

Baddukidde mu kkooti enkulu okujulira kyokka naye n’addukira ku ggombolola y’omukulu w’ekibuga, Charles Musoke Sserunjogi eyamulayizza.

Muwonge ye yawangula akalulu k’obwassentebe bw’omu Kikuubo mu zooni ya Shauriyako B.

Yali avuganya ne Raye Nantege, John Kasasa n’abalala kyokka Nantege yalaba Muwonge abatwala n’asaba banne beegatte bawagire Kasasa kyokka era Muwonge n’abamegga.

Abasuubuzi bagamba nti Muwonge azze akwatibwa KCCA n’aggulwako emisango n’egimu ne gimusinga nga tebasobola kumukkiriza kubakulembera.

Ku lunaku lw’okulayira Nantege yaleeta ekiragiro kya kkooti nga kiyimiriza Muwonge okulayira kubanga omusango gukyali mu kkooti kyokka tekyamuyamba.

Muwonge yawuliddwa ng’ategeeza banne nti abalonzi tebakyafaayo nnyo ku ssente n’erinnya wabula obusobozi na kiki ky’obasuubizza okubakolera n’asaba abagagga okumwegattako bakole.