Mwekwate Mwoyo Mutukuvu ajja kubawanguza

By Vivien Nakitende

Msgr. Charles Kasibante akubirizza abayizi okwekwata Mwoyo Mutuukirivu n'ebitone bye eky'amagezi n'eky'okutegeera abayambe okuyita ebibuuzo

Busega1webuse 350x210

Bya Vivien Nakitende
Msgr. Charles Kasibante, Vicar General asooka ow’essaza ekkulu erya Kampala, akubirizza abayizi okwekwata ebitone bya Mwoyo mutuukirivu byonna omuli; eky’amagezi n’eky’okutya Omukama bibayambe mu bulamu bwabwe. 
Abakubirizza bulijjo okukoowoola Mwoyo mutuukirivu abawe ekitone ky’okumanya, eky’okutegeera, eky’okubuulirirwa, eky’okutya Omukama basobole okuwangula ensi eno.
Yabadde ku kigo kya Mt. Camel e Busega ng’awa amasakalamentu okuli: erya Ukalisitiya (okusembera) ne konfirimansiyo ssaako omugigi eri abayizi abaasobye mu 400 okuva mu masomero ag’omu kigo kino.
 sgr asibante ngawa abaana abaamaze emisomo omukisa Msgr. Kasibante ng'awa abaana abaamaze emisomo omukisa

 

Yagambye nti, “Oli bw’akulaga ekituufu kigondere, Mwoyo wa Mukama aba ayise mu ye okukubuulirira, naffe abantu abakulu, Mwoyo y’atulung'amya, obujjumbize bw’eddiini mwongere okubunyweza.
Mwagale obutuukirivu mubeere kyakulabirako muleme okwesittaza abalala nga mwambala bulungi ate mukwate ebibayigirizibwa.
Mwetangire ebizibu, si buli ky’okola nti ojja kifunamu, mubeere bagumiikiriza mu bulamu bwammwe obwabulijjo na mu buli kye mukola, mukuume Yezu nga mukuuma ebiragiro bye era mutambulire mu bigere bye.
Ebigenge by’omubiri n’omwoyo mubitwale eri Yezu abiwonye era mubiwone,” Msgr. Kasibante bwe yayigirizza.
Msgr. Kasibante yayambiddwaako Fr. Lawrence Ssekamatte, bwanamukulu w’ekigo kino eyakubirizza abazadde okwongera okuyigiriza abaana baabwe eddiini n’okugibakuumiramu baleme kutangatanga.