Ssaabadinkoni alabudde abakazi abaawambye ekituuti

By Musasi wa Bukedde

Ssaabadinkoni w’e Kamuli, Ven Rev. Moses Kisuule Kasimizi, alabudde abakyala abaawambye ekituuti ky’ekkanisa y’e Kakira ne basabisa nti boolekedde okukwatibwa ssinga Bakiddamu.

Basatu1 350x210

Ssaabadinkoni w’e Kamuli, Ven Rev. Moses Kisuule Kasimizi, alabudde abakyala abaawambye ekituuti ky’ekkanisa y’e Kakira ne basabisa nti boolekedde okukwatibwa ssinga Bakiddamu.

Kino kyaddiridde abakkiriza okutabuka n’Omwawule Rev. Richard Tony Musota, ne bamugaana okunona ebirabo, okubatiza abaana baabwe n’okuziika abafu nga bamulanga obulyake.

Ku Ssande ewedde, abakazi bano okuli; Naume Nali (eyabuulidde), Joyce Azisawaali ne Scovia Makooma, be baakulembedde okusaba era kigambibwa nti be baagenze n’ebirabo.

Ven. Kasimizi yagambye nti baafutyanse amateeka agafuga Ekkanisa n’aga Ssemateeka wa Uganda olw’okwefuula kye batali.