Ssente z’okuzimba ssweeta y’e Kamuli zikwasizza yinginiya

By Musasi wa Bukedde

ABATUUZE b’omu ggombolola y’e Kisozi mu disitulikiti y’e Kamuli batabukidde abakungu ba disitulikiti olw’okufuula pulojekiti y’okuzimba ssweeta y’eddwaaliro ly’e Nankandulo ey’okulyamu ssente nga kati emyaka 14 nga bagizimba.

Kwata1 350x210

ABATUUZE b’omu ggombolola y’e Kisozi mu disitulikiti y’e Kamuli batabukidde abakungu ba disitulikiti olw’okufuula pulojekiti y’okuzimba ssweeta y’eddwaaliro ly’e Nankandulo ey’okulyamu ssente nga kati emyaka 14 nga bagizimba.

Ekyewuunyisa buli mwaka baliko omutemwa gwe bafuna okuva ku bajeti kyokka nga ssweeta ekyagaanyi okuggwa. Ssweeta yatandika okuzimbibwa mu 2002.

Gavumenti yasalawo okugaziya eddwaaliro lya Nankandulo Health Center 1V, abantu bawone okugenda e Kamuli nga baali batambula mayiro ezisoba mu 30.

Mu 2002, baali basuubira okusaasaanya obukadde 75 okuzimba ssweeta kyokka baakagissaako obukadde 300, kuba buli mwaka bayinginiya basaba ssente endala.

Mu kiseera kino abantu abagenda okubalongoosa batwalibwa mu ddwaaliro e Kamuli, Jinja ne Iganga.

Kansala wa Kisozi ku disitulikiti Charles Mpalabule azze yeemulugunya olw’omulimu okutambula akasoobo nga n’omutindo tegumatiza wabula nga bayinginiya bakakasa nti kye bakola bakimanyi kuba kye baasoma.

Abakungu okuva mu ofi isi ya Pulezidenti abalondoola ebyobulamu bwe kyagenze e Kamuli abatuuze baabaloopedde engeri ssweeta eno gye yagaana okumalirizibwa era nga ne Salama Musumba bwe yali Ssentebe yagezaako okubalaga eky’okukola kyokka ne bagaana.

Baalagidde yinginiya Grace Mulondo eyaweebwa omulimu gw’okuzimba ssweeta eno ekwatibwe.

Dr. Julian Nabatanzi yalagidde poliisi ekole okunoonyereza kwayo okuzula ekituufu ku byabadde byogerwa abantu.

Mulondo nga y’omu kuba naggagga b’e Kamuli yatuuyanidde mu kaduukulu wakati mu kulaajana bamuyimbule ku kakalu ka poliisi.

Abatuuze bagamba nti amadiriisa galinga ag’ennyumba esulwamu nga ne bw’obeera ebweru olaba bulungi ebiri munda.

Ate n’engeri enzigi gye zaakolebwamu si yabuwangaazi kuba tebassaako byuma bikuuma bintu biri munda newankubadde nga bakimanyi nti byamuwendo abantu basobola okubibba.

Nabatanzi yabadde n’omubaka wa Pulezidenti e Kamuli Moses Ddumba. Nabatanzi yagambye nti bagenda kutwala abakugu bakebere engeri ssweeta eno gye yazimbibwamu n’okubalirira ensaasaanya ya ssente balabe ekiddirira.