Lukululana y'amafuta ekutte omuliro n'ebengeya e Iganga: Poliisi ekubye amasasi okugumbula ababadde basena amafuta

By Musasi wa Bukedde

Lukululana y'amafuta ekutte omuliro n'ebengeya e Iganga: Poliisi ekubye amasasi okugumbula ababadde basena amafuta

Kaliro5 350x210

POLIISI e Iganga ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbura ekibinja ky'abavubuka ababadde bakutte obudomola okusena amafuta mu lukuluna ezaagudde ku kyalo Butende e Iganga ku kkubo eriva e Busia okudda e Kampala.

Lukuluna nnamba KCD 3474/ZE28115 eyabadde eva e Busia ng'ejudde amafuta yalemerede omugoba waayo n'egwa ku mabbali g'ekkubo ku ssaawa 2 ez'ekiro ekikeeseza olwa Ssande wadde nga abaagibaddemu bonna baasimattuse akabenje kano.

Ku makya ga leero, bannannyini kampuni ya lukulana eyagudde (GAZ) babadde baleese lukulana endala nnamba UAN037L okuteekamu amafuta agabadde gasigaddemu wabula mu kusimbura n'ekwata omuliro ne gutuntumuka mu bbanga.

Ebisingawo birindi mu Bukedde wa Mmande

Laba ebifaananyi.....

alt=''
alt=''