Ssenga lwaki sifuna lubuto?

By Musasi Wa

NNEEGATTA n’omwami wange naye nemeddwa okufuna olubuto ate nga tetukozesa kondomu ate siri ku famire? Kiki ekinnemesa okufuna olubuto?

2012 3largeimg208 mar 2012 110121980 350x210

NNEEGATTA n’omwami wange naye nemeddwa okufuna olubuto ate nga tetukozesa kondomu ate siri ku famire? Kiki ekinnemesa okufuna olubuto?

Omusajja n’omukazi singa beegatta ne batafuna lubuto nga tebalina kye bakozesa kulutangira omu ku bo oba bombi babeera n’obuzibu.

Kino oluusi kiva ku ndwadde za bukaba omu ku mmwe oba mwembi ze muba nazo era ng’emu ku zo esinga okuleeta embeera eno y’enziku.

Ekirala omwami wo ayinza okuba ng’enkwaso ze ntono mu sayizi oba nga tezirina mikira egigiyamba okuwuga amangu okutuuka ku ggi ly’omukyala mu nnabaana nga tezinnafa.

Ate abasajja abamu tebalina ntula zikola nkwaso. Obutatuuka ku ntikko oba okutuukako amangu nakyo kireeta obuzibu buno. Kale mwana wange mulina okugenda mu ddwaaliro mukeberebwe bababuulire obuzibu buno kwe buva nga bukyali.

Ssenga lwaki sifuna lubuto?