Akakodyo lwaki takaagala?

By Musasi Wa

Ekikolwa kino kyawukana ku ky’omwana omuto okuyonka amabeere ga nnyina.

SSENGA lwaki omusajja wange tayagala kuyonka ku mabeere gange?

Ekikolwa kino kyawukana ku ky’omwana omuto okuyonka amabeere ga nnyina.

Kino kiyitibwa kunuuna bbeere kubanga talina ky’aggyamu wabula okunyumirwa oba naawe okukwongera ku buswandi bw’omukwano.

Abasajja abamu ebintu nga bino bibakwasa ensonyi ate abalala balowooza nti bya kyana kito.

Waliwo n’abamu abeenyinyala ekikolwa nga kino naddala ssinga omukazi gw’asinda naye omukwano mucaafu oba ng’akyali nnakawere ng’atya nti mu kumunuuna amabeere ayinza okuyonkeramu amabeere g’omwana.

Akakodyo lwaki takaagala?