Omuwala mmutya

By Musasi Wa

Siggwe wekka alina ekizibu ky’okugamba omuwala akulya obwongo nti omwagala.

NNINA omuwala mukwano gwange naye mpulira mmwagala bya mukwano kyokka ntya okumugamba. Nkole ntya?

Si ggwe wekka alina ekizibu ky’okugamba omuwala akulya obwongo nti omwagala.

Abasajja abamu batuuka n’okutuuyana naye ekigambo ne kibula.

Wabula, ebigambo olumu bwe birema, oyinza okukozesa ebikolwa munno n’amanya nti omwagala. Kino bwe kikulema, weebuuze ku mikwano gyo bakubuulire engeri gye bamatizaamu omukazi n’akkiriza.

Oba funayo munne omuyitire mu nsonga eno.

Omuwala mmutya