Lwaki nkoma mu kkubo?

By Musasi Wa

Ssenga nsaba kunnyamba, lwaki nkoma mu kkubo? Mmaze emyaka 10 nga seegatta kati ndi wa myaka 24 naye mba nnaakayingira nga njiwa amazzi amangi nago galemesa okumalako. Nze Tom.

2014 6largeimg224 jun 2014 093325610 350x210



 Ssenga nsaba kunnyamba, lwaki nkoma mu kkubo? Mmaze emyaka 10 nga seegatta kati ndi wa myaka 24 naye mba nnaakayingira nga njiwa amazzi amangi nago galemesa okumalako. Nze Tom.   

Tom, kitegeeza watandika okwegatta ng’olina emyaka 14! Nga wakeera okwegatta? Mu bavubuka kyangu nnyo okufuna embeera eno kuba obeera n’obwagazi bungi oba amaddu mangi era kya butonde okumala amangu oluusi nga tonnaba na kutandika kwegatta.

Naye bw’ogenda okula obwagazi bukendeera era oyiga n’okulowooza ku muntu gwe weegatta naye anti nga ggwe afuga ebirowoozo byo.

Kati okuze, singa ofuna omuntu gw’oyagala era ng’ofaayo nti naye alina okufuna essanyu nsuubira togenda kufuna buzibu buno. Kisobola okubeerawo omulundi ogusooka naye oguddako togenda kufuna buzibu.

Ate bw’ogenda okwegatta kiteeke mu birowoozo nti ne munno alina okufuna essanyu. 

Lwaki nkoma mu kkubo?