Lwaki mpunya?

By Musasi Wa

Bwe mmala okunaaba mpunya mu mbalakaso. Ssenga nkoze ntya? Nze N.J.

 Bwe mmala okunaaba mpunya mu mbalakaso. Ssenga nkoze ntya? Nze N.J.  

Mwana wange olimba tonaaba bulungi n’ekirala oyinza okuba nga bw’omala okunaaba teweesiimuula bulungi ne tawulo. Era singa weesiimuula bulungi ate ng’onaabye bulungi kizibu okuwunya.

Mpozzi waliyo abamala okunaaba ne beesiimuula ate ne batuuyana. Okutuuyana ng’omaze okunaaba kisobola okuleeta okuwunya. Ky’olina okukola kugula  powuda gwe bayita ‘heat prickly’ ng’ali mu kika kya ‘Cussons’ okusinga.

Bw’omala okunaaba obulungi n’oyisa ekyangwe mu mbalakaso, weesiimuule bulungi okale. Oluvannyuma weesiige pawuda oyo olyoke oyambale empale ey’omunda. 

Lwaki mpunya?