Bamukutte lwa kulagajjalira mwana n''akonziba

By Musasi Wa

EBBUJJE ery’omwaka ogumu eribadde lisibirwa mu nnyumba ewa Kuleekaana kulw’e Salaama, likukunuddwayo poliisi nga likonzibye amagumba gonna gali ku ngulu linaatera kufiiramu.

2012 11largeimg205 nov 2012 090619570 350x210

Bya Henry Ssennyondo 

EBBUJJE ery’omwaka ogumu eribadde lisibirwa mu nnyumba ewa Kuleekaana kulw’e Salaama, likukunuddwayo poliisi nga likonzibye amagumba gonna gali ku ngulu linaatera kufiiramu. Kigambibwa nti muka kitaawe “Siteepu maaza” abadde aliggalira mu nnyumba ng’agamba nti abonereza muggyawe eyalitwala n’alisuulira bba nga libadde libamazeeko emirembe.

Ng’oggyeko amagumba okwanama ebbujje lino, obusajja bwe (ebbujje) bw’abadde bw’eweseemu nga bulinga emmindi ekyatabudde ennyo abatuuze n’abapoliisi ne baagala okuyisaamu Zahara Nalukwago “Siteepu maaza” empi nga bagamba nti buyinza obutasobola kuddamu kwegolola kukola ng’akuze.

Ate poliisi y’e Salaama yakutte nnyina omuto ono, Zahara Nalukwago n’emuggalira ng’eyagala agiyambeko mu kuginnyonnyola ensonga ebadde emuggaliza ebbujje lino mu nnyumba nga taliganya kufulumako bweru nga kati bayigga kitaawe Hussein Kato.

Ofiisa wa poliisi (C/ASP) Rebecca Ayet yategeezezza nti Nalukwago yandiba n’ekigendererwa eky’okwagala okutta omwana wa muggyawe ng’akola bino okumulumya y’ensonga lwaki baamukutte abayambeko mu kubuuliriza.

Ayet yagambye nti abamu ku batuuze abaalumiriddwa ebbujje lino, be baatemezza ku poliisi n’egenda okununulayo omwana ono nga bayambibwako owa LC mu Kosovo Zooni, Kaggwa Mubiru.

Wabula Nalukwago yeewolereza nga bw’afubye okujjanjaba omwana ono n’atuuka n’e Mulago gye baamugambira nti omwana alina obulwadde bwa Endema. Yategeezezza abapoliisi nga bw’alina ebbaluwa z’e Mulago.

Eky’okumusibira mu nju, Nalukwago yagambye nti abasawo baamugamba amukuumire mu kifo ekibuguma aleme kuyitamu mpewo. Nnyina w’omwana ono, yamusuulira bba nga kigambibwa nti obuggya bw’amukwata lwa kuwasa mukazi mulala (Nalukwago).

Omwana eyakonziba amukwasizza