Nnyina amukasuse n’awagamira mu waya n’emusala

By Musasi Wa

POLIISI eyigga omukazi agambibwa okukuba omwana we oluvannyuma n’amukanyuga n’agwa mu waya y’engoye eyamukutte mu bulago n’emusala nga yabuzeeko katono okumutuga.

2015 1largeimg231 jan 2015 083157830 350x210

 Bya Shamirah Nabiddo

POLIISI eyigga omukazi agambibwa okukuba omwana we oluvannyuma n’amukanyuga n’agwa mu waya y’engoye eyamukutte mu bulago n’emusala nga yabuzeeko katono okumutuga.

Omukazi ono eyategeerkeseeko erya Florence abadde mupangisa ku nnyumba za Nnalongo mu Kalule Zooni ng’abatuuze bamulumiriza okutulugunya omwana we era bwe baamutiisizza okumusiba kwe kudduka.

Akulira ebyokwerinda ku kyalo, Sarah Birungi yagambye nti omukazi ono aludde ng’atulugunya abaana ng’era bulijjo bamulabula naye nga tawulira. Birungi era yategeezezza ng’omukazi ono bw’ali omutamiivu nga buli lw’akomawo ng’amukuba.

Omwana ono kati akuumibwa Birungi ng’ajjanjabwa ku ddwaaliro lya Mirembe Clinic e Kawempe ku Ttaano ku fayilo nnamba 16/24/01/2015.

Nnyina amukasuse n’awagamira mu waya n’emusala