Omwana gweyatulugunyizza amukwasizza

By Musasi Wa

OMUKAZI Fazira Nake yasoose kukwata magulu ga mwana n’amusulika, olwo n’amukuba nga bw’amuwuuba mu bbanga.

2015 6largeimg211 jun 2015 095402190 350x210

Bya BASASI BAFFE
OMUKAZI Fazira Nake yasoose kukwata magulu ga mwana n’amusulika, olwo n’amukuba nga bw’amuwuuba mu bbanga.

Ekyo tekyamumalidde n’akwata amatama n’amatu g’omwana ku njuyi zombi n’amuwanika mu bbanga wakati mu bulumi n’okulaajana.

Obwedda omwana ono owa muggyawe alaajana kyokka nga Fazira amuboggolera mu bukambwe obw’ekitalo nti, “Shut-up” ekitegeeza nti, “Sirika mangu’.

Akatambi akalaga Fazira, 28, atulugunya omwana ow’emyaka ena, kaasunguwazza abantu bangi ne bageraageranya omukazi ono ku mukozi w’awaka, Jolly Tumuhiirwe eyakuba omwana wa bakamaabe mu December 2014 mu ngeri etali ya buntu era kkooti n’emusalira okusibwa emyaka 4 e Luzira.

AKATAMBI KAAKWATIDDWA MULIRANWA
Muliraanwa eyakutte akatambi kano yategeezezza poliisi mu kyama nti Fazira abadde asussizza okutulugunya omwana naddala mu biseera nga bba taliiwo.

Bba wa Fazira akola mu kitongole ky’ensi yonna eky’emmere (World Food Program) era obudde obusinga tabeera waka. Yasooka n’awasa omukazi gwe yazaalamu omwana oyo omuwala, wabula ne baawukana era omusajja n’afuna Fazira, gw’alinamu abaana abalala babiri.

Kyokka omu ku baliraanwa yategeezezza poliisi nti akatambi ako yakakwata mu March w’omwaka guno kubanga baali baludde nga banenya Fazira okukuba obubi omwana ekisusse kyokka ng’abaziimuula buziimuuzi! Nti abamu baategeeza ne ku bba, wabula n’atabaako ky’akolawo ng’omukazi amumatizizza nti abamuwa olugambo bagezaako kutabula maka.

Wadde akatambi yakakwata mu March, yasalawo obutakawaayo kyokka bwe yazze ku mwana n’addamu okumukuba obubi ennyo, obusungu bwa muliraanwa ne bulinnya n’asindika akatambi ako ku mukutu gwa WhatsApp ne Facebook ne kasaasaanira ensi yonna era n’aba poliisi olwakalabye, abaserikale ne basitukiramu.

Fazira yakwatiddwa ku Lwokubiri era akuumirwa ku poliisi e Tororo nga bwe bakola ku nteekateeka ezimutwala mu kkooti.

OMUKAZI AYOGEDDE EBINYIIZIZZA POLIISI
Fazira mu kwewozaako yagambye nti abadde tatulugunya mwana wabula ku lunaku akatambi lwe kaakwatibwa, nti omwana yamira ekinusu olwo Fazira kwe kutandika okumuwuuba n’okumuggunda nti asobole okusesema ekinusu kye yali amize.

Kyokka bino byanyiizizza poliisi nga bamubuuza oba ebyo by’ayogera by’ebiri ne mu katambi; ate olwo n’apalappalanya nti omwana abadde asussizza okufuka ku buliri.

Avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana ku poliisi e Tororo, Jane Nakizza yagambye nti bagenda kukozesa obujulizi bw’akatambi n’abajulizi abaludde nga balaba Fazira ng’atulugunya omwana ono, okumulumiriza mu kkooti aweebwe ekibonerezo ekinaakola ng’ekyokulabirako.

Omwana gweyatulugunyizza amukwasizza