Omusomesa aleppuka na gwa ku kuba muyizi kibooko 84

By Musasi Wa

POLIISI y’e Katwe ekutte n’eggalira omusomesa w’e ssomero lya Minaka Kindergarten & P/S e Makindye mu Barracks Zooni ku bigambibwa nti yavudde mu mbeera n’akuba omuyizi w’eky’omukaaga kibooko 84 ne zimuyuza akabina.

2015 7largeimg209 jul 2015 131917327 350x210

BYA JOSEPH MUTEBI

POLIISI y’e Katwe ekutte n’eggalira omusomesa w’e ssomero lya Minaka Kindergarten & P/S e Makindye mu Barracks Zooni ku bigambibwa nti yavudde mu mbeera n’akuba omuyizi w’eky’omukaaga kibooko 84 ne zimuyuza akabina.

Ambrose Opio omusomesa mu ssomero lino mu kibiina eky’omukaaga yeyavudde mu mbeera n’akuba Magezi Lwanga owa P.6 kibooko zamulumiriza okubeera 84, ne zimubambula akabiina konna ne kavaako ediiba.

Lwanga yategeezezza owa poliisi akola ku nsonga za poliisi n’omuntu wa bulijjo ku poliisi e Katwe Jackson Bogere nti ku Lwokusatu omusomesa ono yatulagidde tuwandiike emabega w’ebitabo essomo lyeyabadde atuwadde wabula ate bwe nawandiiseeyo ne mutwalira nanefulira nankuba kibooko ezasusse mu kinana.

Akabina ka Lwanga omusomesa Opio keyatulisizza


Nawunze era eka nazzeyo nga nkaaba ne mbuulira mmange Sophia Nabankema eyagenze ku poliisi ne nagulawo omusango.

Bogere eggulo ku Lwokuna yesitudde n’agenda ku ssomero lya Minaka Kindergarten e Makindye ne bakwata Opio eyabadde agezaako okudduka ng’alabye poliisi wabula oluvannyuma bwe bamututte e Katwe ku poliisi yakkiriza okukuba Magezi nti naye bwabadde busungu.

“Nsaba kusonyiwa byonna ebyabaddewo naye nga gwe gubadde omulundi gwange ogwasoose okukuba omwana yenna mu nkuba eno” Bwatyo Opio bweyategeezezza poliisi.

Bamukutte ne bamutwala okumugyako sitetimenti bakira poliisi bw’emubuuza oba amaanyi etteeka erifuga abaana n’agamba nti byonna abimanyi naye ensobi yagikoze dda.

Bogere yagambye nti yamuguddeko dda omusango gw’okutuusa ku muyizi ebisaago ku kabina ku fayyiro nnamba SD/86/08/07/2015.

Omusomesa aleppuka na gwa ku kuba muyizi kibooko 84