Omwami yansuulawo ate n'omwana andwaddeko - 'Munnyambe'

By Musasi Wa

MAAMA alaajanidde abazirakisa olw'omwana we ow'emyaka omwenda, eyagongobala. Nuruh Nakimuli ow'e Gganda mu Wakiso atubidde ne mutabani we Derrick Kato Ntege, atakyasobola kutuula, kuyimirira wadde okutambula era ali mu bulumi obumusiibya n'okusula ng'akaaba.

2015 9largeimg216 sep 2015 105627460 350x210

 MAAMA alaajanidde abazirakisa olw'omwana we ow'emyaka omwenda, eyagongobala. Nuruh Nakimuli ow'e Gganda mu Wakiso atubidde ne mutabani we Derrick Kato Ntege, atakyasobola kutuula, kuyimirira wadde okutambula era ali mu bulumi obumusiibya n'okusula ng'akaaba.

Ntege yasindikibwa munne mu butanwa bwe baali bazannya omwezi oguwedde n'agwa ku kyuma ekyamumenya eggumba ly'omu kisambi, mu vviivi n'olubiriizi. Abadde ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago gye baamuteerako ekiseminti.

Baakasaasaanya 500,000/- era mu kiseera kino Nakimuli agamba nti ssente zimuweddeko, abaana be abalala tebakyasoma ate ne bba yamulekawo.

Abasawo baamutegeezezza nti omwana okuteekebwamu ebyuma alina okusasula 3,000,000/-, kwe kusaba alina obuyambi amufunire ku ssimu 0774846263.

Omwami yansuulawo ate n''omwana andwaddeko - ''Munnyambe''