Omwana gwe baakubye emiggo addukidde ku poliisi

By Musasi Wa

Omwana addukidde ku poliisi olwa muka kitaawe okumukuba emiggo n’amuleetako ebisago. Shamudu Kaweesi, 8, omuyizi ku ssomero lya Enemic e Kawempe agamba nti okuva nnyina Juliet Nanfuka lwe yamuleeta ewa kitaawe, amukuba nga nte.

2015 9largeimg226 sep 2015 084319230 350x210

 Bya Shamirah Nabiddo

Omwana addukidde ku poliisi olwa muka kitaawe okumukuba emiggo n’amuleetako ebisago. Shamudu Kaweesi, 8, omuyizi ku ssomero lya Enemic e Kawempe agamba nti okuva nnyina Juliet Nanfuka lwe yamuleeta ewa kitaawe, amukuba nga nte.

Agamba nti maama we Nanfuka atunda ngoye nga kitaawe ye Meddiegy’abeera kati. Kaweesi agamba nti nnyina omuto ayitibwa Maama Sarah aludde ng’amukuba emiggo n’obutamuwa mmere.

Okugenda ku poliisi kyaddiridde maama we ono okumukuba emiggo egyamuleeseeko ebiwundu mu maaso ng’era abatuuze be baamuwerekedde ku poliisi n’amuwaabira.

Wabula Maama Sarah olwategedde nti omwana agenze ku poliisi n’adduka nga kati bamuyigga ku musango gw’okutulugunya omwana ku fayiro SD: 30/21/09/2015 eyagguddwaawo ku poliisi y’e Kawempe.

Omwana gwe baakubye emiggo addukidde ku poliisi