Omukazi anyodde omwana wa muggya we obusajja

By Musasi Wa

OMUKAZI agambibwa okunyoola omwana wa muggya we ebitundu by’ekyama, poliisi emukutte.

 Bya PADDY BUKENYA

OMUKAZI agambibwa okunyoola omwana wa muggya we ebitundu by’ekyama, poliisi emukutte.

Teddy Ampaire ow’e Ngalagala mu ggombolola y’e Mpenja mu Gomba yakwatiddwa poliisi y’e Kanoni mu Gomba bwe yakkakkanye ku mwana wa Harimah Nambasa nga ye Joseph Matovu, 5, n’amunyoola obusolo n’okubunyiga.

Nambasa maama w’omwana ono yategeezezza poliisi nti Ampaire aludde ng’atulugunya omwana we kyokka ku luno yamukutte akasolo n’akasika n’okukanyoola.

Nambasa ayongerako nti akasolo k’omwana kaakoseddwa oluvannyuma lwa Ampaire okukasika kumpi kukakutulako. 

Ampaire yeegaanyi okulumya omwana n’agamba nti naye yeewuunyizza ekyavuddeko ebitundu by’omwana ono okuwanvuwa ennyo ng’ate yamukubye kibooko yokka.

Bba w’abakazi bano, JamesLubega yagaanyi okuyingira mu nsonga z’abakazi be era okusinziira ku akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Gomba, Doreen Kakyo, Ampaire yagguddwaako omusango gw’okutulugunya omwana wa muggyawe ku fayiro SD:08/02/10/2015 era waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

Omukazi anyodde omwana wa muggya we obusajja