Ayokezza omwana we ekidomola poliisi emukutte

By Musasi wa Bukedde

OMUKAZI yeekobaanye ne bba ne bookya omwana ekidomola nga bamulaga kubba 500/-. Fatumah Nangobi 20, akuumibwa ku poliisi y’e Ndejje - Lubugumu mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo, ye yayokezza Sinani Kwelya ow’emyaka 9.

Byabaana1 350x210

Sinani yategeezezza poliisi nti bazadde be okuli kitaawe Abdu Mpoya akolera mu Kisenyi ku kyuma ky’obuwunga ye yeekobanye ne Nangobi.

Akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Ndejje -Lubugumu, Nancy Katami yagambye nti baakutte Nangobi nga bwe banoonya Mpoya eyadduse oluvannyuma lwa Kwelya okutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.