Akuutidde abazadde obutasuulirira bitone bya baana

By Musasi wa Bukedde

MUNNAKATEMBA Andrew Benon Kibuuka akubirizza abazadde bulijjo okufaayo ku bitone by'abaana baabwe naddala nga bakyali bato.

Andrewbenonkibuukangalinabamukubayizi 350x210

Ono abakuutidde okutwala ebitone by'abaana ng’ekintu ekisobola okusitula obulamu bwabwe obw’omu maaso.

Yakakasizza nti abaana emito be bakwatiridde eby’emizannyo by’eggwanga eby’omu maaso.

Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okwoleesa ebitone ogwabadde gutegekeddwa essomero lya Yudesi Nursery and Primary School ogwabadde gutegekeddwa ku Bat Valley.

 baana nga balaga ebitone Abaana nga balaga ebitone

Ye Rogers Kakaire akulira essomero lino yasiimye abazadde olw’obuwagizi obutaliiko kkomo n’abategeeza nti ku ssomero abaana tebatakoma ku kubabangula mu byakibiina wabula n’eby’emizannyo bissibwako essira.

Ono yasuubizza nga bwebajja okugenda mu maaso n’okutegeka emyoleso bwegiti okukakasa ng’abaana baganyulwa mu buli ddakika gye bamala ku ssomero.

Abasomesa nabo baacamula abazadde n’obuyimba obubawaanawaana.