Abatalina busobozi baakuyambibwako okuzimba

By Musasi wa Bukedde

Abazadde abatalina buzobozi baakuyambibwako okusomesa abaana baabwe n'okuzimba enju.

Wakatiyemuyindidryadamramkumarwebuse 350x210

Bya Madinah Sebyala

Ekibiina ekidduukirira abaana abateesobola ekya Youth Vulnerable Children and Orphans  Alliance  Africa (YVECO) kikoze omukago n’ekya Human Rights for Literacy Mission (HRLM) eky’e Buyindi okulaba nti abaana ba Uganda bafuna eddembe lyabwe ery'okusoma n'okubazimbira ennyumba mwe babeera nga bayita mu kibiina ekibayamba okutereka olwo bayambibweko abagabi b’obuyambi. 

Omusumba Aaron Siribaleka ow'ekkanisa ya Seek the Lord Ministries, Masaka era nga y'akulira  ekibiina kya Yveco yagambye nti, bakoze omukago guno n’aba HRLM ekikulirwa Dr. Yadam Ram Kumar  eyazze mu Uganda okulaba nti buli mwana mu Uganda afuna eddembe ly’okusoma n'okumuzimbira aw’okusula.

 musumba Omusumba Siribaleka (ku ddyo) ng'ayogera eri abazadde

 

Yagambye nti, kino baakikoze nga basoose ku bya njigiriza nga bakubiriza abazadde okutereka n'okwewola mu nkola gye batuumye Education Savings Bureau ng’omuzadde aliko ssente z'atereka nga bamaze okufuuka bammemba mu kibiina nga zino zijja kubayamba okusomesa abaana baabwe n'oluvannyuma ekibiina kibongereko.

Yayongeddeko nti, bakolagana n’ensi eziwerako omuli Canada, Amerika n'amalala okulaba nti omwana w'omuddugavu afuna eddembe lye mu kusoma n'okwebaka.

Yabadde ku Rest Gardens e Bweyogerere bwe baabadde mu musomo ogw’okumanya empeereza y’ekibiina kino. 

Dr. Yadam Ram Kumar, abantu baabuuzizza engeri gy'agenda okutuukiriza okuzimbira abantu amayumba n’abagamba nti bagenda kugula ettaka bazimbeko n'oluvannyuma abaagala ennyumba basasule mu kibanjampola ate abalina ettaka babazimbire ku bwereere.