Abazadde bawangulidde abaana baabwe ebirabo ku ssomero

By Musasi wa Bukedde

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 350x210

Bya Hafswa Nankanja

Abazadde bawangulidde abaana baabwe yunifoomu, bbasale, ebitabo, ekkalaamu ne ssente enkalu mu mpaka z’okudduka ezaabateereddwaawo omukulu w’essomero lya Brightway Nursery and Primary School e Nakuwadde – Bulenga, Moses Ibanda.

 baana nga bavuganya mu kukola obwangu okufuna akatebe basobole okuwangula Abaana nga bavuganya mu kukola obwangu okufuna akatebe basobole okuwangula

 

Abazadde baabadde balina okudduka nga balonda obupapula obwamansiddwa mu kisaawe kyonna nga buno kwe kwabadde bye baawangudde.

Bakira buli muzadde yeesomera ekirabo ekyabadde kiwandiikiddwa ku kapapula k'alonze.

Okuvuganya kuno baakukoledde ku kabaga k'amatikkira g'abayizi ba nnassale abaagenze mu P.1 akaabategekeddwa essomero, aka buli mwaka. Ku lunaku lwe lumu, abayizi ab'ebibiina ebirala kwe baayoleserezza ebitone eby'enjawulo ng'okujjuza eccupa ya sooda n’amazzi ng'okozesa sipongi, okuddukira mu kkutiya, okukozesa obwangu n'osooka banno mu katebe n'ebirala ebyanyumidde abazadde.

 bazadde nabasomesa nga basala keeki nabayizi baabwe abaamalirizza omutendera gwa nnassale okugenda mu 1 Abazadde n'abasomesa nga basala keeki n'abayizi baabwe abaamalirizza omutendera gwa nnassale okugenda mu P1

 

Ibanda yagambye nti, eno emu ku nkola zaabwe ze bayitamu okuddiza ku bazadde ababeesiga ne babakwasa abaana ab'ekisulo n'abava awaka omwaka ne guggwaako nga tewali atoma okuggyako okubongera abayizi abalala.

Ng'era okuvuganya bwe kuba, abazadde abamu baaviiriddemu awo olw'obupapula bwabwe okuba nga mu kifo ky'okuwandiikibwako ebirabo, ate bwo bakira busoma ebigambo nga; weebale kubeera muzadde mulungi, tukwagaliza omwaka omuggya ogw'essanyu, toggwaamu maanyi, ggwe muwanguzi w'omwaka ogujja n'ebirala.