Mweyise nga Yesu abantu babeegombe

Ayagala okumwegomba mu nsi naddala ng'akuze alina kweyisa nga Yesu eyazaaliddwa

 Abaana nga bazinira Yesu gwe baagala okufaanana

Bya Lilian Nalubega

Abaana ba Ssande School mu kkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa bajaganyizza olw'okuzaalibwa kw'omwana Yesu ne bamuzinira amazina n'okumuyimbira ennyimba ezimutendereza.

 bato n ga batendereza esu mu ssanyu Abato n ga batendereza Yesu mu ssanyu

 

Bano baakulembeddwaamu abasomesa ba Ssande School okwabadde muky. Teo Mukasa n'abalala nga bakira bakulembera ennyimba nga bwe bazinira wamu n'okuyimba.

Baabuulidde abato amakulu g'okuzaalibwa kwa Yesu era ne babakubiriza okweyisa mu mpisa ennungi ng'omwana Yesu bwe yakola.

"Omwana Yesu ng'akuze buli muntu yali amwegomba olw'empisa ze okuva obuto kale nammwe mufube mumufaanane," muky. Mukasa bwe yagambye.