Musabire embeera eri ku nsalo ya Ugandsa ne Rwanda etereere

By Musasi wa Bukedde

Omusumba Kaggwa alaze obweraliikirivu ku mbeera eri ku nsalo ya Uganda ne Rwanda n'asaba abantu okusaba wabeewo okukkaanya

Siigawebusemain 350x210

Bya Phiona Nanyomo 

Omusumba w'Essaza ly’e Masaka, John Baptist Kaggwa alaze okutya olw'embeera eri ku nsalo ya Uganda ne Rwanda n’agamba nti eno evudde ku bantu abamu obutabeera benkanya, obutakwatagana n’ebirala bingi.

Omusumba asabye abakulembeze b’amawanga gombi Uganda ne Rwanda okutabagana baleme okussaawo empalana.

musumba aggwa ne bannaddiini abalala nga bateekateeka evvu lye baasiize bakristu mu mmisa e itovuOmusumba Kaggwa ne bannaddiini abalala nga bateekateeka evvu lye baasiize Abakristu mu mmisa e Kitovu

 

Omusumba agambye nti, mu kiseera kino abakulembeze bombi balina okutabagana n'ekigendererwa eky'okuzza omukwano wakati w’amawanga gombi.

Asinzidde mmisa gy’ayimbye ku Lutikko e Kitovu etandise ekisiibo n’akalaatira Abakristu okwewala ebikolwa ebitajjansa omuli okujaajaamya emibiri gyabwe naddala mu kiseera kino.

basisita nabantu abalala abaabadde mu mmisaAbasisita n'abantu abalala abaabadde mu mmisa

 

Agambye nti, Abakristu balina okuwa emibiri gyabwe ekitiibwa baleme kugikozesa ebyo ebitasanyusa Katonda. 

Asabye n’Abakristu okwegayirira Katonda mu kiseera kino kibasobozese okwezza obuggya.