Abayizi abasoba mu 300 bamalirizza emisomo gy’eddiini

By Musasi wa Bukedde

Abayizi abasoba mu 300 bafunye Essakalamentu lya Ukalisitiya ne bajaganya

Boys1webuse 350x210

Bya Madinah Sebyala

Amyuka bwanamukulu w'ekigo ky’e Namilyango, Rev. Fr. Godfrey Mboowa awadde omukisa era n'akakasa abayizi 300 ku misomo gy’eddiini.  

Fr. Godfrey Mboowa, eyakulembedde mmisa yayigirizza abayizi okugoberera ennono y’eddiini y’Obukatoliki.

Yasabye abazadde okuyamba ku baana nga babawa eby'okulabirako ebirungi omuli; okusaba, okusembera, okwambala obulungi n'okweyisa mu ngeri yonna esanyusa Katonda kye yagambye nti, kye kijja okubaziyiza obutataayaaya mu buli ddiini ebasala mu maaso kye yagambye nti, kye kisinze okwonoona eggwanga. 

 r boowa eyayigirizza mu mmisa Fr. Godfrey Mboowa eyayigirizza mu mmisa

 

Yabadde mu Kleziya y'e Namilyango ku mukolo abayizi abasoba mu 300 mwe baafunidde essaakalamentu lya Ukalisitiya ku Ssande oluvannyuma ne bagabulwa.

Omukulu w'essomero lino, Sr. Immaculate Nabukalu yasabye abazadde okukuuma abaana n'okubalondoola okussa mu nkola bye basomye mu ddiini kibayambe okunywerera mu Katonda basobole okumuweereza obulungi nga beewala okukola ebimunyiiza.

Abayizi baavudde ku ssomero lya Namilyango Junior Boys School ne St. Peters Clever P/S.