Sala ekisolo oliise abateesobola oyoole empeera

By Musasi wa Bukedde

By'olina okumanya ku kusala ebisolo osobole okweyoolera empeera

Dhuhiya1webusenew 350x210

Bya Sauyah Namwanje

Okusala ensolo gumu ku mirimu egirimu empeera  nga gukolebwa mu nnaku 10 ezisooka mu mwezi ogwa Dhul Hijja (ogusembayo mu kalenda ey’Obusiraamu). Imaam Sulaiman Kyeyune, Imaam ku muzikiti gw’e Najjanankumbi agamba nti Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti buli kusala omuntu kw’asalawo okukola kuteekwa kubeera nga kwa Allah.

Okusala ebisolo kubeerawo ku lunaku olwa Iddi n’ennaku essatu nga Iddi ewedde (ennaku z’okwanika ennyama). 

Kyokka, abalamazi abali ku mikolo egya Hijja tebasiiba ku lunaku olwa Yaumal Arafa era tebeetaba mu bajaganya emikolo egya Iddi.

 basala ente mu lufula Ente ng'egenda kusalibwa mu lufula

 

Iddi Adhuha ebeera n’ennaku 4 era ‘takibiira’ zigendererwa okuva ku lunaku olwa Iddi okutuuka ku lunaku olw’okusatu olusembayo nga basala ebisolo (obala okuva ku lunaku lwe musaala Iddi n’ogattako ennaku endala 3).

Swahaba Annas Bun Malik yanyumya nti, ku lunaku olwa Iddi Adhuha, Omubaka Muhammad (S.A.W) yasala endiga bbiri nga zombi  za bitanga era nga z’alina amayembe era yazisala n’emikono gye.

Kino kitegeeza nti, omuntu bw’oba olina ensawo nga ngazi osobola okusala ekisolo ekisukka ku kimu nga kirabika bulungi n’ennyama yaakyo era naawe osobola okuzeesalira n’emikono gyo.

Allah yagamba nti, shaitwan etuggya ku bituufu nga tulowooza tugenda okugwa ebbeeyi ekitali kituufu kubanga obeera weetoowazizza ewa Allah.

Imaam Kyeyune ayongerako nti, bw’oba tosobola kusala osobola okubaako b’otuma ne bakusalira ekisolo kyo.

Agamu ku mateeka agafuga okusala

1. Okusoosa ebigambo nti, “Bismillah, Allah Akbar” kuba bw’otokikola obeera ng’osaze ekisolo ekikyafu. Suratil Al Na’am

2. Oteeka ekigere kyo okumpi n’ensingo ereme kutagala na kubuukabuuka okutuusa lw’eneggwaamu amaanyi. Aisha yanyumya nti, Omubaka yamulaga okusooka okuwagala ekiso kireme kulumizibwa.

 nte nga bagitwala okugisala Ente nga bagitwala okugisala

 

3. Bw’oba osonze musale ennyama, si kya tteeka nti olina okufuna ennyama.

4. Okusala ekigendererwa kyakwo kubeera kukola Ibaada si kwefunira nnyama kubanga abamu basinziira ku ssente ze basonze ne babiyomberamu nti, bafunye ennyama entono. Imaam Kyeyune agamba nti, Allah talina kye yeetaagisa ku muntu oba ennyama / musaayi okuggyako okumutya.

4. Si kya tteeka nti, buli lwe mwegatta okusala ekisolo ssente zirina okwenkana wabula buli omu aleeta z’asobola. Abu Hurairah, yanyumya nti omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba nti alina obusobozi n’atasala kisolo oyo tasemberanga we basaalira (totawaana kusaala Iddi). Alina obusobozi bw’ensimbi ateekwa okusooka okuteekateeka abeetaavu nabo basanyuke ku Iddi.

5. Si kya tteeka nti, musajja yekka y’asala wabula n’omukyala asobola okusala ekisolo kubanga n’omu ku bakyala ba Nabbi Aisha (R.A) yasala ensolo nga Nabbi Muhammad (S.A.W) amulaba.

6. Si kya tteeka nti, buli lw’osala olina okulya ku nnyama eyo wabula ekikulu be bantu abanaku abagifunako. Ggwe osobola okusala ekisolo ate n’ogenda ne weegulira ennyama okuva we bagitunda.

7. Si kya tteeka nti, buli lwe mwegatta okubaako ekisolo kye munaasala mulina okuwera omusanvu. Musobola okukisala abantu 2, 3 okutuusa ku 7 era Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, abantu tetulina kusukka 7.