Abakungu ba FUFA mukkirize okwetonda kwa Muwema

By Musasi Wa

AMAWULIRE ga pulezidenti wa SC Villa, Fred Muwema ag’obutaddayo kutwala nsonga za mupiira mu kkooti n’okukkiriza okugondera FUFA malungi.

2012 7largeimg219 jul 2012 091642487 350x210

AMAWULIRE ga pulezidenti wa SC Villa, Fred Muwema ag’obutaddayo kutwala nsonga za mupiira mu kkooti n’okukkiriza okugondera FUFA malungi.

Muwema (omumyuka wa ssentebe wa USL), yategeeza nti agenda kukolera wamu ne FUFA okulaba nga bakulaakulanya omupiira ekintu ekyansanyusizza.

Entalo mu buli kintu tewali kalungi ke zivaamu, zibeeramu okumala ebiseera bingi era singa FUFA ne USL batandika okukolagana nga USL yaakatondebwawo, singa omupiira guli awala.

Amawulire bwe gati mu kiseera nga Cranes yeetegekera Zambia malungi kuba abamu lwa butakikkiriza naye entalo za FUFA ne USL zikonzibya Cranes.

Kati Muwema ky’alina okukola kwe kuzimba Villa eddemu ewangula ebikopo era singa kye yatandikirako n’ava mu ntalo, singa Villa eri wala.

Abakungu ba USL ne FUFA bandikoledde wamu okulaba nga batumbula omupiira nga bwe twalabanga FUFA ya Dennis Obua n’ekibiina kya SDCA.

Wadde olumu baatabukanga, enjawukana zaabwe zaali za mupiira era zaagonjolwanga sso si za buntu nga bwe gubadde ku USL ne FUFA.

Nze kye mbadde nnenya USL kibadde kimu kya butakkiriza nti FUFA y’ebatwala. Kabenge y’asigalidde okwetondera FUFA era kino asaanye akikole kuba okunafuya FUFA, oba ottattana mupiira ate ng’enkya naawe ojja kukwata enkasi oyagale obuyinza.

FUFA erina okusigaza amaanyi gaayo agali mu ssemateeka sso si maanyi agaleetebwa bannabyabufuzi b’omupiira ne USL, aba FUFA mwanirize Muwema.

Minisita w’emizannyo Charles Bakkabulindi yamaze okukakasa nga bw’ali mu kunoonyeza Cranes ensimbi esobole okweteekateeka obulungi.

Bannayuganda ffenna tubeere wamu tulabe nga Cranes eggyamu Zambia. Gavumenti, FUFA, USL, NCS, bannamawulire n’abawagizi y’essaawa okwegatta.

kateregaya@yahoo.com: 0782077016

Abakungu ba FUFA mukkirize okwetonda kwa Muwema