Golola akubye Bukenya n'awaga: 'Mukomye okunneerijjako'

By Musasi wa Bukedde

MOSES Golola ayongedde okulaga nga bw’akyali ‘Sseggwanga’ w’omuzannyo gw’ensambaggere mu Uganda

Golola1 350x210

MOSES Golola ayongedde okulaga nga bw’akyali ‘Sseggwanga’ w’omuzannyo gw’ensambaggere mu Uganda bw’awangudde olulwana lwe olw’ebikonde olw’okubiri oluvannyuma lw’okukuba Meddie Bukenya n’akakasa nga bw’asobola okuwangula emizannyo gyonna mwaneetaba ng’akyali mulamu.

Golola yalaze eryanyi bwe yamazze lawundi zonna ettaano ng’abuutikidde Bukennya era teyamubeeredde mwangu.

Golola yawangulidde ku bubonero 40 nga yasinzizza Bukenya obubonero buna (4) bwokka.
“kino njagala kibeere ssomo eri abo bonna abalowooza nti Golola mmere ya kulya kubanga kati nsobodde okukuba buli annewagirako era kati kye njagala nga tebannaddamu kunsaba basooke beerondemu kirimaanyi olwo gwe mbeera nzannya,” Golola bwe yategeezezza nga yaakamegga Bukenya.

Ye Bukenya yategeezezza nti wadde yawanguddwa akyayagala okuddamu okulwana ne Golola mu kudding’ana kubanga yabadde amusobola era takkiriza nti amusinga.