Mike Mutebi ali ku kigezo

By Musasi wa Bukedde

Mike Mutebi ali ku kigezo

No2 350x210

Leero mu Uganda Cup:
Mbarara Soccer Academy - KCCA
Egyazannyiddwa:
Sun City (7) 1-1 (6) URA FC
Keolu Super Boys 0-2 Express
Kira Young (5) 0–0 (4) Simba
Kireka Utd 1-3 Bright Stars
Kampala University 2-1 JMC
Nyakisenyi FC 0-4 Saints
Artland 0-1 BIDCO
Lira Utd (2) 2-2 (4) Maroons

KCCA FC egenze Mbarara kuttunka ne Mbarara Soccer Academy mu kikopo kya Uganda Cup ng'omutendesi waayo Mike Mutebi ali ku kigezo okudda n'obuwanguzi.

Ttiimu eno yaakuttunka nga terina mutendesi Sam Ssimbwa abadde ng'afalaasira abazannyi ku katebe ate nga bangi bagamba nti KCCA gw'ebadde eyimiriddeko.

Omupiira gwa Mutebi ogwasoose nga Ssimbwa taliiwo (olw'okunoonyerezebwako ku by'akatambi), Simba yakubye KCCA mu peneti mu kikopo kya Tarehe Sita ku Lwokutaano ekyavuddeko abamu ku bawagizi okugamba Mutebi nti ttiimu emuzitooweredde.

KCCA egenze etidde okuwanduka nga URA, Simba ne JMC eza Super bwe zaggyiddwaamu buttiimu bw'ekyalo. Mutebi yasuubizza okudda n'obuwanguzi.