Nneesiga Denis Onyango okutaasa ennyanda za Botswana tuwangule’

By Martin Ndijjo

ANNET Namusoke Bagola, y’omu ku bayimbi abapya. Amanyiddwa nga Annies Bagola nga ye yayimba ‘Bantama’ ng’abeera Kabuusu, Lubaga.

Cute 350x210

ANNET Namusoke Bagola, y’omu ku bayimbi abapya. Amanyiddwa nga Annies Bagola nga ye yayimba ‘Bantama’ ng’abeera Kabuusu, Lubaga.

Ng’oggyeeko mmyuziki, anyumirwa nnyo omupiira era agugoberera ku ttivvi. Ebweru w’eggwanga, muwagizi wa FC Barcelona ate wano Uganda Cranes emufuukuula.

Twayogedde naye n’alagula egimu ku mipiira egizannyibwa wiikendi eno nga bw’agisuubira okuggwa.
Botswana1-2 Uganda

Uganda twetaaga buwanguzi okugenda mu z’akamalirizo ez’Afrika era wadde tuli ku bugenyi, tujja kuwangula.

Nsuubira abazannyi bamalirivu era bagenda kusambisa maanyi tuve e Bostswana n’obuwanguzi.

Essuubi lindi mu Denis Onyango eyawangudde engule y’omukwasi wa ggoola asinze mu liigi ya South Afrika era nsuubira obumanyirivu ne ffoomu ye, agenda ku byeyambisa okutangira emipiira mu ggoolo.

Olw’okuba tuli ku bugenyi, sisuubira kuteeba ggoolo nnyingi naye nsuubira wiini.
l Tanzania1 –1 Egypt
l Burundi 0- 2Senegal
l France 2-1 Scotland
l Germany 2-1 Hungary
l Australia 2-2 Greece
l Brazil 2-1 Ecuador
l Czech republic 3-3 Korea Rep.
l Sweden 1-2 Wales
l Belgium 2-0 Norway