KU SSENTE Z’OMUYINDI: Botswana ne Uganda siba ‘under’

By Musasi wa Bukedde

Buli ttiimu egenda kuzannya nga teyagala kukubwa. Olwa ffoomu ya Denis Onyango owa Uganda mu miti, y’emu ku nsonga lwaki yaakateebwamu ggoolo emu mu mipiira ena mu mpaka zino.

Mena 350x210

AKADIRISA ne Laurian Lubulwa

Botswana - Uganda (under) (1.5)

Buli ttiimu egenda kuzannya nga teyagala kukubwa. Olwa ffoomu ya Denis Onyango owa Uganda mu miti, y’emu ku nsonga lwaki yaakateebwamu ggoolo emu mu mipiira ena mu mpaka zino.

Lwakuba ate obuzibu ggoolo za Uganda Cranes nazo za kekkwa nga bwe kyeyolese ne mu mipiira ebiri egisembyeyo n’eremwa okuteeba mu ddakiika 180. Buli ttiimu esobola okuguwangula naye mu under.

Mauritania - Cameroon (2) odi 1.8

Obuwanguzi eri Cameroon ejja kuba efunye tikiti egitwala e Gabon mu mpaka z’Afrika omwaka ogujja.

Oluzannya olwasooka Cameroon yawangula 1-0 nga ne ku luno tegugenda kuba mwangu naye Mauritania okuba nga bali waka ate nga bakimanyi buwanguzi bwe beetaaga okuba n’essuubi ly’okugenda mu z’Afrika, mbasuubira okweggula ekigenda okuwa abateebi ba Cameroon ekyanya okubazinduukiriza.

Burundi - Senegal (2) odi 1.5

Wiiki eno yonna aba Senegal baagimaze bamanyiira mbeera mu Burundi kuba ne ku Lwokubiri beegezaamu ne Rwanda ey’oku muliraano.

Kulemagana kwokka kwe beetaaga naye batunuulidde kumalako kampeyini nga bawangudde emipiira gyonna omukaaga. Ng’olina Diouf, Mane, Diame n’abalala, wiini ya Senegal esobokera ddala.

Rwanda - Mozambique (1) odi 1.8

Oluzannya olwasooka Rwanda yagunona mu Mozambique 1-0 ate ebiseera ebisinga ebeera ya njawulo ng’eri waka. Tesobola kukulembera kibinja naye erina omukisa okuyitamu nga ttiimu ezisinze okukola obulungi mu zimalidde mu kyokubiri singa egoba emipiira ebiri gy’esigaza.

Ngisuubira okukola kyonna ekyetaagisa okumegga Mozambique nga bwe twabalabye nga bamegga Mauritius 5-0.

Emirala:
l South Sudan - Mali (2) odi 1.6
l Flamengo - Vitoria (1) odi 1.60
l Romania - Georgia (1) odi 1.50
l Guinea Bissau - Zambia (under) odi 1.5
l Bahia - Paysandu (1) odi 1.57
l Gambia - South Africa (under) odi 1.6
l USA - Colombia (under) odi 1.7
l Sirius - Trelleborgs (over) odi 1.70
l Ath Bilbao B - Tenerife (over) odi 1.80
l Mauritius - Ghana (2) odi 1.65
l Madagascar - D.R. Congo odi 1.4
l Comoros - Burkina Faso (2) odi 1.6
l Zimbabwe - Malawi (1) odi 1.57
l Benin - Eq. Guinea (1) odi 1.4
l Brazil - Ecuador (1) odi 1.85
l Hodd - Raufoss (over) odi 1.60
l Belgium - Norway (1) odi 1.40