Misagga olumaze okugoba Ibrahim Kirya n'alangirira ekiddako

By Musasi wa Bukedde

Misagga olumaze okugoba Ibrahim Kirya n'alangirira ekiddako

Mis1 350x210

KU nkomerero ya sizoni ewedde, pulezidenti wa SC Villa, Ying. Misagga yagoba abazannyi mwenda n’aleeta 11, nga ku luno atandikidde mu kugogola kitongole ky’abatendesi. Yafuumudde Ibrahim Kirya ne Frank ‘Video’ Anyau n’afulumizaawo n’ekiwandiiko ekiraga ng’omulimu guno bwe gutaliimu muntu.

Mu bimu ku baagala omulimu guno bye balina okubeera nabyo mulimu satifikeeti z’obutendesi eza CAF A ne B. Kirya, eyasikira Abazungu Antonio Flores n’omumyuka we, Francisco Martinez, enzaalwa y’e Spain, nga sizoni yaakatambulako emipiira 9, wa ddembe okuddamu okusaba omulimu guno bw’aba akyagwala kyokka ng’akakwakkulizo ka ‘CAF A’ oba ‘B’ kamusuula bbali. Eno yandiba nga y’egenda okubeera enkola ya Misagga kuba okuva bwe yalya obukulembeze bwa ttiimu eno, buli ntandikwa ya sizoni afuumuula abatendesi n’abazannyi.

Misagga yamaze dda okulangiria nga bw’atagenda kwongera Nicholas Sebwato ne Karim Nduggwa, ndagaano sso nga ne kapiteeni wa ttiimu, Jonathan Mugabi, Miisi Katende ne Abdul Karim Kasule, abaakaligibwa ku bigambibwa nti beekobaana mu by’okutunda emipiira, emikisa gyabwe okudda mu ttiimu mitono.

Yaseri Waibi naye yayimirizibwa olw’okwebulankanya ku ttiimu. Wadde nga Misagga yalagidde abatendesi batandike okusaba omulimu kyokka ensonda zaategeezezza nti Deo Serwadda y’alindiridde okusikira Kirya era kigambibwa nti Misagga yamugambye dda asonge ku bazannyi b’ayagala amugulire. Sserwadda asuubirwa okumyukibwa Shafiq Bisaso.

Kirya yeegatta ku ttiimu eno mu 2014 n’agiwangulira Uganda Cup n’agiyamba n’okumalira mu kyokubiri mu liigi wamu n’okuwangula emipiira etaano ku mukaaga gye baazannya mu mpaka za CAF Confederation Cup.

“ Ndi mumativu n’omulimu gwe nkoledde Villa era mbadde nkyasobola okugiwangulira ebikopo, naye siyinza kukyusa mukama wange ky’asazeewo,” Kirya, eyagambye nti takakasa kugobwa kwe kuba tannafuna bbaluwa bwe yategeezezza.

SSERWADDA AYOGEDDE Sserwadda yegaanyi eby’okuweebwa omulimu guno kyokka n’agamba nti ali mu nteekateeka egusaba kuba alina obusobozi. “Ng’enda kwebuuza ku mikwano gyange, bwe banzikiriza nga ngutwala,” Sserwadda eyazannyirako ttiimu eno mu gy’e 2000 bwe yategeezezza.

 brahim iirya Ibrahim Kiirya

 MISAGGA KY’AGAMBA: Misagga yagambye nti omutendesi Villa gwe yeetaaga alina okuba ng’asobola okukozesa kompyuta, alina ebbaluwa ya siniya eyoomukaaga, ng’asobola okwogera obulungi Olungereza era ng’alina n’empapula za CAF A oba B ezimukkiriza okutendeka ttiimu ya ‘Super’. “Kirya takoze bubi kyokka omutendesi gwe njagala alina okubeera nga ye yeerondedde abantu b’agenda okukola nabo, ng’era ye maneja waayo okwawukanako bwe kibadde, omupiira kati gukuze gwetaaga omutendesi omukugu,” Misagga bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti sizoni ejja Villa erina okuwangulayo ekikopo kuba kye kimuleesa abatendesi. SSERWADDA Y’ANI? Sserwadda mu kutendeka talina nnyo byafaayo okuggyako mu 2006 bwe yali omutendesi ow’ekiseera n’ayamba URA okuwangula Uganda Cup. Mu kaseera kano, atendeka ttiimu ya Police Mobile, ezannyira mu kibinja ekisooka mu Nakawa wamu ne yunivasite y’e Kyambogo.

SSERWADDA ANAAMALAWO EBIZIBU BYA VILLA?

lTalina bumanyirivu ekitegeeza nti Villa nnene ku ye, ekiyinza okumuwa obuzibu. Ekirala, si muganzi nnyo eri abawagizi.

MISAGGA TAGUMIIKIRIZA Mu sizoni bbiri zokka, Misagga agobeddemu abatendesi basatu; Steven Bogere, Sam Ssimbwa, Abazungu ne Kirya. Sserwadda anaamatiza Misagga? ABALALA MISAGGA B’AZZE AGOBA: Muhammad Bazirengedde, Deo Luyimbazi, Polly Ouma, Peter Nsaba, n’abalala