KCCA erumbye Vipers e Buikwe mu Ugand Cup

By Hussein Bukenya

OMUKISA gwokka omutendesi wa Vipers, George Nsimbe gw’alina okukakasizaako nti wa mugaso mu Vipers, alina kuwangula kikopo kya Uganda Cup ekya sizoni eno.

Hg703422 350x210

Ssande ku semi za Uganda Cup: Vipers - KCCA FC, Buikwe 10:00

Onduparaka - Entebe, Arua 10:00

OMUKISA gwokka omutendesi wa Vipers, George Nsimbe gw’alina okukakasizaako nti wa mugaso mu Vipers, alina kuwangula kikopo kya Uganda Cup ekya sizoni eno.

Leero (Ssande) badding’ana ne KCCA FC mu kisaawe e Buikwe ng’omutima gubali wamu olw’okuwangula ensiike eyasooka (2-0) e Nakivubo.

Nsimbe talina kwesogga fayinolo kyokka wabula alina okulaba ng’awangula ekikopo kino basobole okukiika mu z’Afrika sizoni ejja.

Okuyita ku KCCA, balina butakubwa ggoolo ezukka bbiri. Nsimbe agenda kusisinkana munywanyi we Mike Mutebi owa KCCA FC eyawangudde ekya liigi sizoni eno.

Mutebi ekya Uganda Cup kimuwunyira ziizi kyokka awera nti bagenda kukubira Vipers ku bugenyi.