Mbabaali acamudde ab'e Masaka mu mpaka za Pool

By Silvano Kibuuka

Musaayimuto Henry Mbabaali mu Nyendo alaze nga bw’atawunyikamu mu kuzannya Pool mu bitundu bya Masaka n’emiriraano bw’awangudde empaka ezibumbujjidde ku bbaala ka Club Klein ku ludda e Kitovu n’awangula 100,000/- era ye yeesogga empaka ez’akamalirizo eza Nile Special National Open Pool Championships.

Nilepoolnyendosept22016henrymbabaali1 350x210

Musaayimuto Henry Mbabaali mu Nyendo alaze nga bw’atawunyikamu mu kuzannya Pool mu bitundu bya Masaka n’emiriraano bw’awangudde empaka ezibumbujjidde ku bbaala ka Club Klein ku ludda e Kitovu n’awangula 100,000/- era ye yeesogga empaka ez’akamalirizo eza Nile Special National Open Pool Championships.

Mbabaali (20) era nga mukwasi wa ggoolo ya Nyendo FC agambye nti ayagala mmotoka ya Nile Special ey’omwaka guno era okutuuka ku buwanguzi, akubye Rashid Sebatta ng’ono makanika mu Nnakayiba ku bugoba 5-2 wadde nga bombi baayiseemu okuzannya ez’akamalirizo e Lugogo omwezi ogujja nga October 21.

Ekyazinze okucamula abawagizi be bazannyi bombi okukwatagana nate nga baatuuka ku fayinolo ya Idd Cup omwaka guno Mbalaali n’awangula.

“Njagala mmotoka. E Lugogo njagala kuwangula oba okumalira mu bana abasooka,” Mbabaali bwe yategeezezza.

Wabula yasoose kutuuyanira ku luzannya lwa kwota bwe yavudde emabega akagoba 1-3 okukuba Glorius Senyonjo 4-3 ng’ono yabadde amusinza obumanyi mu Pool nga yaakazannya ez’akamalirizo e Lugogo enfunda bbiri.

Denis Nyombi eyaakatuuka ku z’akamalirizo e Lugogo enfunda bbiri kata alemererwe bwe yakutte ekyokusatu nga yakubye Brian Mpoza ku bugoba 4-2.

Ku kwota ono yagyemu maneja wa kiraabu ya Klein Godfrey Mutindo ku bugoba 4-2.

Enzannya za rigyoni zaakwongera okubumbujja ku nkomerero ya wiiki eno.