Kirunda alabudde Cranes mu gwa Comoros

By Stephen Mayamba

JIMMY Kirunda eyali kapiteeni wa Cranes mu 1978 omulundi gwe yasembayo okwetaba mu za Afrika awadde abazannyi ba Cranes amagezi bave ku bigambo by’abantu eby’okucamukiiriza.

Siba 350x210

JIMMY Kirunda eyali kapiteeni wa Cranes mu 1978 omulundi gwe yasembayo okwetaba mu za Afrika awadde abazannyi ba Cranes amagezi bave ku bigambo by’abantu eby’okucamukiiriza.

Bwe yabadde ku kijjulo ekyagabuddwa abazannyi ku Lwokuna ekiro ku wooteeri ya Serene Suites e Mutundwe, Kirunda yagambye nti omulimu gukyali munene okutuusa nga Cranes ewangudde.

‘Muwulira abantu bacamufu era boogera nti twayitamu dda naye mbasaba muleme kutwala bigambo byabwe kubanga omulimu gukyali munene ate si mwangu nga bwe baagala okubalowoozesa.

Eddakiika 90 ezo si ntono ate mu mupiira buli kimu kisoboka,” Kirunda bwe yabagambye.

MICHO BAMUKULIZZA AKABAGA:

Omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevich kyamuyitiriddeko abazannyi be bwe baamukoledde akabaga k’amazaalibwa ke yabadde tasuubira.

Ku Lwokuna nga September 1, Micho yawezezza emyaka 47 era abantu baasibye bamuweereza obubaka obumuyozaayoza.

Akawungeezi, yatutte ttiimu ye okutendekebwa ku kisaawe kya yunivasite ya IUIU e Kabojja nga tasuubira nti abazannyi be baamutegekedde akabaga ak’ekyama.

Okuyingira ekisaawe baamaze kukolagana ne maneja wa ttiimu, Crispus Muyinda nga batumizza ne keeki.

Oluvannyuma lw’okutendekebwa bakung’aanye wakati mu kisaawe nga bali mu kusaba nga bw’eri enkola yaabwe olwo keeki nayo n’esembezebwa.

Micho ye yasembyeyo okusaba oluvannyuma lwa Tony Mawejje ne Farouk Miya ne basuulamu akayimba k’amazaalibwa.

Micho yakomyewo ne batandika okumugwa mu kifuba olwo nga bwe bategeka era oluvannyuma yasaze keeki n’ayambibwako abamyuka be Moses Basena ne Fred Kajoba okubagabula era olwamaliriza okugisaanyaawo ne balinnya baasi okwolekera wooteeri ya Serene Suites.

Abazannyi baategeezezza nga bwe batagenda kuyiwa Micho era baakukuba Comoros enkya (Ssande) bamwongere essanyu.

Cranes yeetaaga buwanguzi bwokka okuyitamu okuzannya ez’Afrika ez’akamalirizo mu 2017.