Akulira eby'amawulire mu IAAF asiimye enteekateeka y'okukwatamu emisinde gya IAAF omwaka ogujja

By Musasi wa Bukedde

Akulira eby'amawulire mu IAAF asiimye enteekateeka y'okukwatamu emisinde gya IAAF omwaka ogujja

Ki1 350x210

UGANDA nga yeetegekera okukyaza ensi mu mpaka z’emisinde gya IAAF World Cross Country ez’omulundi ogwa 42 omwaka ogujja, omukungu okuva mu kibiina ky’ensi yonna  eky’e misinde ng’ono y’avunaanyizibwa ku Baamawulire  mu mpaka zino, Anna Legnani asiimye entegeka eteereddwawo okulaba nti abaamawulire bakola bulungi emirimu gyabwe nga bazze mu mpaka zino omwaka ogujja.

Legnani eyatuuse mu ggwanga ekiro ekyakeesezza Olwokubiri  ali ku mirimu emitongole okulaba ng’ayambako ekibiina ky’emisinde mu ggwanga okusobola okutegekera  bannamawulire  abanaakola mu mpaka zino ezinaabawo nga March 26, 2017 mu kisaawe e Kololo.

Ku Lwokubiri yalambudde ekisaawe e Kololo awagenda okubeera emisinde gino  era n’ategeeza nga buli kimu bwe kitambula obulungi ng’obuntu butonotono obwetaaga okukyusa okusobozesa abaamawulire okukola emirimu gyaabwe obulungi.


Ono ye mukungu  owookusatu okuva mu IAAF ng’ajja okwetegereza enteekateeka bwe zitambula ng’abaasooka baali baakakiiko ak’ekikugu n’owakanoonya okutunda empaka.
   
Mu ngeri y’emu ttiimu eyayitibwa mu nkambi okwetegekera empaka zino Uganda z’etegese, yatandise eggulo okutendekebwa ng’abazannyi 39 be baayitibwa era baakusunsulwamu mu January ku mpaka z’eggwanga ezinaayindira mu kisaawe e Kololo.