Micho asazeeko 22 mu Cranes

By Stephen Mayamba

OKULABULA omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic kwe yawa abazannyi 44 be yayita wiiki ewedde nti ajja kusalako buli anajja nga muzito, akutadde mu nkola.

Cranes 350x210

Mu nnaku bbiri zokka ze yaakabatendeka e Namboole, asazeeko abazannyi 22 era nga 22 abaasigadde b'asuubira okutwala e Fort Portal okuzannyamu ne ttiimu ya ligyoni y'e Kitara ku Ssande.

Bano era b'agenda okuggyamu ttiimu gy'atwala mu Ethiopia yeegezeemu ne bannyinimu ku Ssande ya wiiki ejja (June 4) ate nga June 6 yeepimemu ne Senegal nga tennazannya Cape Verde nga June 11 mu gw'abalyetaba mu z'Afrika eziribeera e Cameroon mu 2019.

Abaasaliddwaako ye; Ibrahim Kibumba, Rahmat Ssenfuka, Oromchan Villa, Farouk Banga, Issa Mubiru, Eddie Kapampa, Pius Kagwa, Solomon Wafula, Juma Balinya, Muhammad Yiga, Timothy Sebudde ne Maxwell Okello n'abalala.