Babiisanyizza mu mpaka za Tae Kwondo e Lugogo

Abazannyi ba Rwanda beefuze empaka za Tae Kwondo eza Ambassadors Cup ezibumbujjidde mu Lugogo Indoor Arena okumala ennaku bbiri.

Freddy Kangendo (ku kkono) nga yeeriga ne Royson Okwera owa Uganda mu mpaka za Tae Kwondo eza Korean Ambassadord Cup e Lugogo nga May 28 2017. Kangendo yawangudde ku bubonero 19-05.(ekif: Silvano Kibuuka)

Kiraabu ya bamusaayimuto eya Children's Sports Charity Academu (CSCA) ye yasitukidde mu ngule bw’ewangudde emidaali gya zaabu 10 kw’ezzizza feeza mukaaga kko ne Bronze 3.

Bano baddiriddwa kiraabu ya Lee Club esangibwa e Kisugu so ng’aba kiraabu ya Police abaakiwangula omwaka oguwedde bAamalidde mu kyakusatu nga nabo balina emidaali gya zaabu esatu.

Kiraabu za Uganda 18 ze zeetabya mu mpaka zino ezeetabiddwamu ne kiraabu okuva mu Tanda, endala e Nairobi so ng’eyookusatu yavudde Kenya n’endala mu Dr. Congo.

Wabula wadde ng’aba Rwanda baawangudde emidaali gya zaabu 7 baamalidde mu kifo kyakuna oluvannyuma lwa Bannayuganda okubawangulako obubonero bwa baamusaayimuto.