Kabaka ayimirizza ez'ebika bya Buganda lwa kufa kwa Ssebaana

By Dickson Kulumba

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’ayimirizza omupiira ogw’empaka z’ebika ogubadde gugenda okuggulwawo ku Lwomukaaga nga 8/7/2017 nga kati guzziddwa ku lwa Ssande 9/7/2017 ku kisaawe e Nakisunga- Kyaggwe.

Johnssebaanakizito1 350x210

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga kisoma nti;

“Obwakabaka bwa Buganda bukungubagira nnyo Owek. John Ssebaana Kizito era olw’okusiima obuwereeza bwe, Ssabasajja Kabaka asiimye omupiira ogw’empaka ez’ebika ogubadde ogw’okuggulwawo ku Lwomukaaga nga 8/7/2017 wakati  w’Embogo n’Engeye e Kyaggwe, gujjululwe, guzzibwe ku Ssande nga 9/07/2017.”

Mayiga abadde e Bulange- Mmengo ategeezezza nti olw’okujjukira  obuweereza bw’omugenzi eri Nnamulondo n’Obwakabaka, bbendera z’Obwakabaka zijja kwewuubira mu makkati g’emirongooti ku lunaku lw’anaaziikibwa- ku Lwomukaaga 8/7/2017 mu Buganda wonna.

Katikkiro Mayiga yagambye nti;

“Obwakabaka bujja kukungubagira Owek. Ssebaana mu ngeri  ey’enjawulo mu lutuula lw’olukiiko ku Lwokusooka lwa wiiki ejja nga 17/7/2017.

Twebaza omugenzi olw’obuwereeza eri Ssaabasajja Kabaka ne Buganda yonna okutwalira awamu.

Omugenzi anajjukirwanga nnyo  olw’obwesimbu, okunywerera ku nsonga awamu n’obutakoowa. Tusaba Katonda agumye ab’omunnyumba ye ate n’omwoyo gwe aggulamuze kisa.”