Amasomero gaweereddwa ebikozesebwa mu Cricket

By Silvano Kibuuka

Amasomero g’abalenzi 42 ge gagenda okwetaba mu mpaka z’eggwanga eza 2017 era nga gaweereddwa ebikozesebwa mu muzannyo guno gatandike okwetendekera mu 'region' mwe gali.

Cricketkitbukedde3 350x210

Ebikozesebwa bino era bye gagenda okweyambisa okuvuganya mu mpaka za rigyoni ezitandika omwezi ogujja nga fayinolo zisuubirwa mu December.

Buno bwe bumu ku buyambi obuvudde mu mikwano gy’ekibiina kya Uganda Cricket Association okuva mu kiraabu ya Banks Town esangibwa mu ggwanga lya Australia nga baatandika okuvujjirira Uganda b’ebikozesebwa okuviira ddala mu 2003.

Buli ssomero liweereddwa ebikofiira by’oku mutwe, eby’okwesabika engalo n’amagulu, obupiira wamu n’obubaawo obukuba akapiira ka Cricket.

Akulira eby’enkulakulana mu kibiina kya Uganda Cricket Association Henry Okecho y’akwasizza amasomero ebikozesebwa bino n’agamba nti basuubira okwongera okutumbula omutindo gwa Cricket nga bayitira mu bato ba besuubira okubbulula Uganda.

“Bino bitenda kwongera okutumbula omuzannyo. Ttiimu ya Uganda ey’abali wansi w’emyaka 19 ekyakola bulungi mu mpaka eziri e Kenya ez’okusunsula abanaazannya World Cup omwaka ogujja era nga bonna baava mu mpaka z’amasomero,” Okecho bw’ategeezezza.

Kinajjukirwa nti ttiimu ya Uganda Cricket Cranes yawanguliddwa ku butaka bwe yategese empaka z’ensi yonna ez’ekibinja ekyokusatu mwe yakwatidde ekyokutaano ku mawanga mukaaga ageetabye mu mpaka zino mu mwezi gwa May.