Desire Luzinda azinye 'Ekitone' n'omugagga Lwasa enduulu n'evuga

By Martin Ndijjo

OMUYIMBI Desire Luzinda taggwayo, abadigize olusabye oluyimba lw’ekitone n’ayita Omugagga Emmanuel Lwasa bazine bombi.

Clubtavernkick40 350x210

Luzinda yasoose kubuuza bantu luyimba lwe baagala nga baleekanira waggulu era bamuzzeemu nti ‘Ekitone’ wano naye kwe kubagamba nti “Ate bwe nkifulumya nga munvuma kati mwagala ki? Mu bwangu yayise omugagga Lwasa ku muzindaalo nti “Wama mwami Lwasa jangu munnange batwogerere amafuukule tubalage…..” enduulu n’evuga.

Bano baabadde ku mukolo ogw’okuggulawo mu butongole ‘Club Tavern Kick’ ekya Lwasa ekimu ku bifo eby’omulembe ebisanyukirwamu e Masaka era minisita Godfrey Kiwanda eyakiikiridde omumyuka wa pulezidenti w’eggwanga yasiimye omulimu ogukoleddwa.

AB’E MASAKA BATTUNSE N’AB’E KAMPALA

Wadde omukolo gwabadde Kyabakuza mu Masaka, kino tekyalobedde bagagga b’omu Kampala n’abavubuka abamanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu okwabadde n’ebyana biwala ebyamyuka entumbwe okulumba.

ABAYIMBI BATUNSE

Abayimbi okwabadde; omubaka Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), David Lutalo, Desire Luzinda, Winnie Nwagi, King Saha, Gravity Omutujju, Roden Y Kabako, Evelyn Lagu n’abalala ssako bakazanyirizi abakulemeddwamu Madrat & Chiko be basanyusiza abantu era obwedda buli akwata akazindaalo oba okulinnya ku siteegi afuba okukakasa abantu nti y’asinga.