Ab'olugave baweze okuwandula emmamba mu gy'ebika

By Musasi wa Bukedde

Ab'olugave baweze okuwandula emmamba mu gy'ebika

Gud1 350x210

OLUNAKU lw'enkya ekibanyi ky'akugwa n’amenvu ab'eddira Olugave bwe banaaba basisinkanye ab'eddira Emmamba ya Gabunga mu luzannya olusooka olwa Quarter Fayinolo z’emipiira gy’ebika by’Abaganda egizannyibwa ku kisaawe kya Wankulukuku.

Olugave olutendekebwa George Ssemwogerere lwaggyamu Ennyonnyi ya Nakinsinsige era omutendesi agamba,”ngenda kusubwa nnyo Muzamir Mutyaba olwa KCCA okuba nga emukozesa nnyo kyokka ndimugumu kuba olwa’abazannyi okuli Brian Nkuubi(Vipers),Julius Mutyaba(URA) ne Faisal Ssemwogerere(BIDCO) era ngenda kulaga Gabunga nti omupiira sibigamba”,ssemwogerere bweyategeezezza.

Ate yo Emmamba ya Gabunga etendekebwa Cyrus Nsubuga okutuuka wano yaggyamu Emmamba ya Kakoboza era omutendesi agamba nti Olugave nduwa ekitiibwa kuba kika ky’amaanyi naye nga nkyalina abazannyi nga Farouk Kizito(Villa),Elkanah Nkugwa(URA) ne Nicholas Sebwato(Onduparaka) olwo Olugave terulina welumpita.