KCCA eremaganye ne Maroons abawagizi ne bakiika ensingo

KCCA eremaganye ne Maroons abawagizi ne bakiika ensingo

EMIPIIRA egigguddewo liigi ya Azam 2017:

SC Villa 1 – 0 Soana – Masaka

BIDCO 0 – 0 Mbarara City – Kakindu

KCCA 0 – 0 Maroons – Lugogo

Masavu 0 – 0 Police FC – Ntebe

Onduparaka 0 – 0 Proline – Arua

SC Villa yokka y’ekozesezza akakisa k’ekisaawe ky’okubutaka okuwangula Soana ggoolo 1-0 mu mupiira oguguddewo liigi ya Azam Uganda Premier League nga gubadde mu Masaka Recreation Ground.

Omuteebi Vitalis Tabu eyalemwa okwaka sizoni ewedde ye yateebedde SC Villa ggoolo mu kitundu ekyokubiri era nga ye ggoolo yokka eteebeddwa mu mipiira etaano egisambiddwa okuggulawo liigi ya sizoni eno.

E Lugogo abawagizi bavuddeyo nga bayomba olwa ttiimu eyatutte obwa Ssaloongo bwe yawangula liigi ne Uganda Cup sizoni ewedde n’esamba n’emipiira gya CAF okutuuka ku luzannya lwa kwota okulemwa okuwangula omupiira oguwoose mu kaweefube w’okweddiza ekikopo.

Enzannya za liigi ziddwaamu nkya Lwakusatu ng’ebamu ku bali mu nsiike ye Express FC ekyaza Kirinya Jinja SSS e Wankulukuku.