Ndejje yeeswanta kweddiza mpaka za yunivaasite

NDEJJE University oluvannyuma lw’okuwangula ekikopo kya yunivasite eyasinga mu mizannyo gyonna ate n’okwefuga emizannyo egyasinga obungi mu 2015 Inter University Games ezaategekebwa Busoga University, ku Lwomukaaga ne Ssande wiiki eno be bategesi era nga beewera kuzaayo ebikopo byonna bye baawangula bongereko n’ebirala.

Bya GERALD KIKULWE

Inter Universite Games

Lwamukaaga – Sande, Luwero

2016 empaka zino tezaazannyibwa olwa East African University Games ezaali e Kenya wabula Ndejje abalina ekikopo kya 2015 baawangula emizannyo okuli, okuwuga, okudduka, football(abaami), Badminton, Woodball ne Karati era kino kye kyabafuula ab’enkizo okulangirirwa nga ba Champiyoni. 

Patrick Ssekigongo akulira akakiiko akateeseteese emizannyo gino e Ndejje akakasizza nga buli kimu bwe kiwedde okuli ebisaawe byonna okuyooyotebwa nga balindiridde lunaku.

“Tuli beetegefu n’okusinga omwaka gwa 2015 era buli gwetunasisinkana yeesibe bbiri kuba tetugenda kukkiriza kutujoogera waffe,ebikopo tubizzaayo,”Ivan Kalimuli akulira eby’emizannyo e Ndejje bwe yakakasizza. 

Guno gwe mulundi ogwe 17 empaka zino okutegegekebwa  nga Ndejje yakiwangula mu 2011,2013 ne 2015 wabula ku luno Yunivasite nnyingi ezeetabyemu okuli St. Lawrence Univ, Interanationala University of East Africa, Ndejje abategesi, KIU, MUBS, IUIU, Gulu Univ, Kabale Univ, Mbarara Univ, Busitema, Nkumba n’endala.