Golola alangidde munne amasulubu ne beegwa mu malaka

By Musasi wa Bukedde

Ebigambo by’obusagwa Moses Golola bye yayogeredde Abu Kikenwa byamuzaalidde akabasa bweyamuyise ‘Masulubu’ ekyaggye munne mu mbeera ne beegwa mu malaka.

Golola1 350x210

Bya Fred Kisekka

Ababiri bano babadde batongoza lulwana lwabwe ku woteeri ya ‘Zion Hotel’ kyokka Golola yayogeredde Kikenwa ebisongovu ekyabaviiriddeko okwekasukira amacupa.

 “Nze gw'oyita omuzannyi wa katemba nkubye buli njovu ezze enneeriggyako wano mu Uganda. Ng'enda kukuba ago amasulubu ngaase nga bwe nnakola Tugume ne Mugula," Golola bwe yagambye.

 zimu ku cupa ezaayasiddwa olola oluvannyuma lwokuyita ikenwa gwagenda okuttunka naye nti asulubu awedde emirimu Ezimu ku cupa ezaayasiddwa Golola oluvannyuma lw'okuyita Kikenwa gw'agenda okuttunka naye nti Masulubu awedde emirimu.

Bino bye bigambo ebyaggye Kikenwa mu mbeera n'akuba emmeeza ekyabaviirideko okwekasukira amacupa.

Ababiri bano baakuttunka mu lulwana lw’omusipi mu buzito bwa ‘Cruser weight’ olugenda okubaawo nga March 13, 2018 ku Freedom City.

 ulezidenti wensambaggere assan ekirime ku kkono bu ikenwa alik aliisa ne olola ku ddyo mu kutongoza olulwana lwabwekif  Pulezidenti w'ensambaggere, Hassan Sekirime ku kkono, Abu Kikenwa, Malik Kaliisa ne Golola ku ddyo mu kutongoza olulwana lwabwe. Ekif: FRED KISEKKA.

Mu nnwana endala ezaateereddwaawo mulimu olwa; Umar Semata ne Abdul Afidhi Karim enzaalwa ya Algeria, Shakey Mubiru ne Sharif Bukenya, Brenda Masendi ne Jackie Nassimbwa wamu n'endala.