KCCA ekansizza Okwalinga owa Mbarara City FC

By Musasi wa Bukedde

KCCA eyongedde okwenyweza bw'ekansizza omuzannyi omulala, Solomon Okwalinga okuva mu Mbarara City FC.

Bya DEOGRATIUS KIWANUKA    

Okwalinga omuwuwuttanyi yazannyirako ttiimu ya Synergy star gye yava okwegatta ku Mbarara City gy'amaze ebbanga lya myezi mukaaga ng'abazannyira.

Ono atadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu ng'azannyira KCCA FC.

Okwalinga yeegasse ku Steven Bengo naye eyaguliddwa KCCA FC okuva mu Express.   

“Tuli basanyufu olwa Okwalinga okutwegattako. Akyali muvubuka muto era bw'ayongeramu amaanyi ebiseera bye eby'omu maaso bijja kuba bitangaavu,” Mike Mutebe atendeka KCCA FC bw'agambye.

Kyokka Okwalinga kigenda kumwetaagisa okulinnyisa omutindo kuba amakkati ga KCCA galimu abantu bangi okuli; Muzamiru Mutyaba, Allan Okello, Paul Mucureezi, Ibrahim Saddam Juma kw'ossa n'abalala bangi abatayisikamu maaso.