Eyewaanye okutolontoka bamuyodde muyoole ku ttaka

By Musasi wa Bukedde

OMUSAJJA eyasoose okwewaasiira nga bw'agenda okulaga banne ttaaci yeewuunyisizza abalabi bw'akomekeredde nga bayoola muyoole.

Namasuba2 350x210

BYa JOSEPH ZZIWA

Zino zaabadde mpaka za kutolontoka byalo ezaategekeddwa eggulo ku Mmande mu Namasuba Kikajjo mu Munisipaali ya Makindye - Ssabagabo n’ekigendererwa ky’okusonda ensimbi okudduukirira abakadde mu kitundu nga zeetabiddwamu abantu 100 ku 2000 buli omu.

Omu ku baazeetabyemu, Ronald Kagimu, yasoose n'awaga nga bwe yamaze edda okuwangula, bakira awanika emikono n’okuggyamu essaati nga bw'alaga akanyama buli omu n’amanya nti ddala loodi yandiba nnantawunyikamu mu misinde wabula gye byaggweredde ng’akameeme kakubye era bayoddewo muyoole ku ttaka!